Friday, August 31, 2018

Trending Uganda has uploaded a new video on YouTube

Ekyuma kya kkansa e Mulago kizzeemu okwonooneka, Abalwadde basatira || BINSANGAWANO
EKYUMA ekipya ekikola ku balwadde ba kkansa ekibadde kyakagulibwa kizzeemu okwonooneka omulundi ogwokubiri mu bbanga lya myezi esatu. Ekyuma kino ekyawemmenta obuwumbi obukunukkiriza mu busatu era nga kyaggulibwawo mu butongole mu ntandikwa y’omwaka guno nga 19, January, 2018. Nga kyakakolako emyezi etaano gyokka, (June, 04, 2018) ekyuma kino abakugu baasalawo emirimu gyakyo giyimirizibwe nga bagamba nti waliwo bye baali bagenda okukiterezaako ebitalinda. Okuyimirizibwa kw’ekyuma kino kwewanisa abantu abamu emitima naddala abalwadde ba kkansa n’abeng'anda zaabwe abaali batandise okufuna ku buweerero. Oluvannyuma dayirekita mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Henry Mwebesa yavaayo n’alung'amya nti, ekyuma kyali tekifudde wabula waaliwo abakugu bye baali baagala okwekebejja wabula nga kyali kya kaseera buseera. Dr. Mwebesa era yategeeza nti ekyuma kino nga tekinnagulibwa, kyasooka kwekebejjebwa era ne kikakasibwa ab’ekitongole ky’ensi yonna ekya ‘International Atomic Energy Agency’ (IAEA) wamu ne Institute for Clinic Use, ne kizuulibwa nti kituukana bulungi n’omutindo gw’ensi yonna. Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Dr. Jackson Orem, akulira Uganda Cancer Institute, e Mulago, kiraga nti, baawaliriziddwa okuyimiriza emirimu gy’ekyuma kino oluvannyuma lwa kompyuta kwe kikolebwa okubalaga nti kyafunyeemu obuzibu. “Twamaze dda okutegeeza abakugu gye twakigula era nga tubasuubira okutuuka mu ggwanga obudde bwonna bazuule obuzibu kwe bwavudde,” Bwa’tyo Dr. Orem, bw’ategeezezza. Ono era yagaseeko nti, basuubira okukola ku kizibu kino mu bbanga eritasukka lya wiiki emu. “Ekirungi tulina essuubi nti wabilwo ebyuma ebirala bibiri bye tusuubira okufuna mu bbanga lya myezi ena nga bigenda kuyamba okumalawo omujjuzo gw’abalwadde ba kkansa mu ddwaliro e Mulago. Ekyuma ekimu kya ‘Linear Accelerator’ ate ekirala kya ‘Cobolt 60’ nga byombi bigenda kuva mu ggwanga lya India,”Bw’atyo Orem bweyagaseeko. Dr. Orem yayongeddeko nti, ekyuma kya kkansa kigenze okuyimiziribwa nga waliwo abalwadde 50, abetaaga obujjanjabi so nga ekyuma kino kibadde kikola ku balwadde 150, buli lunaku. For more #BINSANGAWANO click here https://www.youtube.com/playlist?list=PLuKc12Id0ekiK5m6VbicwbIS3WzudwDcZ #Cancer, #FreeBobiwine,#Museveni, #WinnieKiiza, #Kayihura, #EnockBuntu,#bebecool,#Bobiwine, #Trending, #TrendingUganda, #Gossip, #Wolokoso, #Olugambo, #News, #Politics, #Uganda, #Kampala


View on YouTube

No comments:

Post a Comment