Friday, August 31, 2018

UGANDA: NBS TV Uganda has added Abajaasi Bazzemu Okukuba Munnamawulire video

Abajaasi Bazzemu Okukuba Munnamawulire



Olwaleero mu Uganda bwebakugamba nti munnamawulire alabye ennaku towakana nnyo anti kati bakubwa nga kyakuttale era kati abakuuma ddembe balinga abaliwo okulengera abalina kkamera babatimpule. Nga UPDF ne gavumenti bakyannyonnyola ensi ku ky’okukubwa kwa munnamawulire Akena, ate olwaleero basajja ba UPDF bakkakkanye mu munnamawulire wa NBS Television Joshua Mujunga nebatimpula. Musajja wattu Mujunga bamusanze akola gugwe e kamwokya, naye bavuddewo anyiga biwundu era asibidde mu ddwaliro. Ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ekya Human Rights Network for Journalists kiwanjagidde abakulira emukutu gy’amawulire n’abantu ssekinnoomu okusitukiramu okulwanyisa okutulugunya bannamawulire okukudde ejjembe mu ggwanga.

No comments:

Post a Comment